Farming God`s Way Field Guide
Transcription
Farming God`s Way Field Guide
Okulima Mungeri ya Katonda Endagiriro ye Nimiro By Grant Dryden Farming God’s Way Farming God’s Way is a resource given to the wider body of Christ, to serve the poor and deliver them from the yoke of poverty. Reproduction Copyright © 2010 GW Dryden Luganda Translation: Kasule, A., Sperling, C., Sperling, J., 2015 Copies of this publication can be downloaded from www.farming-gods-way.org Reproduction and dissemination of this publication in unaltered form for educational or other non-commercial purposes are authorized without any prior written permission from the copyright holder provided the source is fully acknowledged with the recommended citation below. Reproduction of material in this publication for resale or other commercial purposes is permitted only with written permission of the author, G.W. Dryden – info@farming-gods-way.org The statements, interpretations, and conclusions expressed in this guide are those of the author. Recommended Citation Farming God’s Way Field Guide. Dryden, G.W., 2009. Translation Kasule, A., Sperling, C., Sperling, J., 2015 Sponsors The Field Guide, was sponsored by the Bountiful Grains Trust, 109 Fordyce Rd, Walmer, Port Elizabeth, RSA. IT 949/2007; NPO 061-902; PBO 930025934. Orders To order the training DVD series or printed copies of any of the Farming God's Way resources: Email: info@farming-gods-way.org Telephone: +27 41 5811833 Okulima Mungeri ya Katonda Enyanjula ....................................................................................................1 Ebisumuluzo bya Baibuli ...........................................................................4 Ekisumuluzo 1: Okwatula Katonda Omu Yeka .........................4 Ekisumuluzo 2: Lowooza ku Makubo go.....................................7 Ekisumuluzo 3: Okutegeera nti Katonda ye Byonna mu Byonna..............................................................................................9 Ekisumuluzo 4: Ky’osiga ky’okungula ........................................11 Ekisumuluzo 5: Okuleeta Ekimu eky’ekkumi n’Ebiweebwayo eri Katonda ....................................................................................14 Ekisumuluzo 6: Simbawo akati awo ..........................................15 Enkola nga tugenda emu ku emu.......................................................17 Ensonga amakumi abiri kyetuva tukola bye tukola.........................25 Endabirira ..................................................................................................30 Ekisumuluzo 1: Mu Kiseera ...........................................................30 Ekisumuluzo 2: Ku Mutindo Ogwa Waggulu............................31 Ekisumuluzo 3: Nga tetwonoona ...............................................32 Okufundikira ..................................................................................33 Okukola Nnakavundira ..........................................................................34 Okubera n'obutonde by’enjowulo mu nimiro nga tukyusakyusa ebirime ......................................................................................................39 Okugaziya.................................................................................................42 Ebikozesebwa ..........................................................................................45 Enyanjula Enima ya Katonda Okutendeka abavu mu bulamu obujuvu mu Kristo Olukalu lw’Africa lwe lusinga obuttonde obwensi obulungi mu nsi yona. Olukalu lwa Africa lulina ebyobugagga eby’omu ttaka, ng’amayinja ag’omuwendo ennyo, n’amaterekero g’amafuta amanene ddala ate nga mangi. Omwo mwe tutwalira n’ettaka ery’okulimirako, n’abantu abalungi n’amazzi amangi ddala mu nnyanja ne mu migga, awamu n’ensolo ez’enjawulo n’ebimera eby’enjawulo. Ebyo ebyogeddwako waggulu bisobolera ddala okufuula olukalu lwa Africa ekifo ekyettanirwa ennyo okukyalirwa abalambuzi. Kyokka ekisinga okwewunyisa ennyo, kwe kulaba nga mu Africa mwe musinga okuba abaavu lunkumpe, n’enjala etaggwa mu bantu, n’endya embi, n’endwadde, n’entalo ezitaggwa, n’obutali bwesimbu mu nkozesa y’ebintu mu gavumenti, n’ensonga endala nnyingi ezisingayo okuba embi. Mu bantu ba Africa, 85% ku bo balimi ababulijjo, abatalya mere kukkuta nga ne mbeera mbi. Bangi ku bo be balimi, tebafuna magoba kuva mu ntuuyo zaabwe. Ekivudde mu ekyo, abalimi besigama ku buyambi obw’ emere obuva awalala. Ennima ya Katonda ya ky’amagero nnyo okuva eri Katonda, era eddamu ebibuuzo bingi ku nsonga z’obutaba na mmere awamu n’ensonga ey’obwavu mu bantu ababulijjo. Ennima ya Katonda tekozesa magezi ag’obuzaale gokka, wabula erimu enkola eya Baibuli ennuŋŋamu awamu n’enkozesa y’obukugu mu kulima, ebiyinza okuyamba abantu okuva mu mbeera gye balimu ey’obwavu ne bagaggawala nga bakozesa ebirabo Katonda by’abawadde. Ekivaamu kwe kufuna obulamu obujjuvu Katonda bwe yasuubiza. 1 Ebyabaibuli Endabirira Obukugu Okuva mu kukyusibwa kw’omutima okuyita mu Yesu muvaamu okuzzibwa obuggya mu birowoozo mu ndabirira enungi, oluvannyuma n’okutandika okukola n’emikono mu kutumbula omutindo gw’okulima ekileeta obununuzi bw’etaka. Ennima ya Katonda erina ekkubo ekkakafu eryazuulibwa. Okuva mu mwaka 1984, Brian Oldrieve yatandika okulima kuno, mu Hinton Estate mu Zimbabwe ku kibangirizi ekinene, n’oluvannyuma ne yeeyongera n’atuusa hectare 3500. Okuva mu nnaku ezo, Ennima ya Katonda yabuna mu nsi nnyingi, ng’ekozesebwa amakanisa , n’abaminsani, n’ebitongole ebya nakyeewa. Ennima ya Katonda eri mu nsi eziwerako nga Angola, Benin, DRC, Ethiopia, Kenya, Lesotho, Madagascar, Malawi, Mozambique, Namibia, Nigeria, Rwanda, Sierra Leone, South Africa, Swaziland, Tanzania, Uganda, Zambia, Zimbabwe, n’ensi endala gye kyakatandika obutandisi mu Africa. Ennima eno ekozesebwa munsi endala ezitali mu Africa nga Mexico, British Gayana, Amerika ne mu Bungereza. 2 Ennima ya Katonda kirabo kya buwa ekyaweebwa Ekkanisa ya Kristo. Ennima ya katonda si Kanisa, si kitongole wabula nkozesa. Era kiriwo okuyamba abaavu okuva mu mbeera gye balimu. Obwesimbu, enkola, ne’ntegeka y’Ennima ya Katonda ekolebwa ekibina ky’abantu abeewaddeyo okukola emirimu gya nakyewa abakugu era abalina obumanyirivu mu kutendeka abalala. Ennono ey’obuweereza etali ya bwannannyini ekuumiddwa ng’ekigendererwa kwe kulaba ng’ekirabo kino kikozesebwa obutaweera okukyusa obulamu bw’abantu abali mu bwavu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti, “Abantu bange bazikirira olw’obutamanya.” Tuteekwa okumanya omuwendo g’okuyigiriza abantu abaavu okuba abeesigwa mu nsonga y’ebyobulimi, n’oluvannyuma ebyobuggaga ebirala ku lukalu lw’Africa biryoke bizuulibwe. 3 Ebisumuluzo bya Baibuli Tewali magezi ga buntu gayinza kumenya kikolimo kya bwavu ku Lukalu lwa Africa. Ekigambo awamu n’ekikolwa birina okozesebwa Ekigambo kya Katonda gwe musingi gwe twetaaga nga tunoonya amazima mu bulamu bwaffe. Okukyuka okudda eri Katonda kuleeta okubikkulirwa n’okutangaazibwa, ng’ekikoligo bwe kiviira ddala mu mwoyo. Bwe tukozesa obukugu nobusobozi bw’omuntu ne tuleka ekisumuluzo kya baibuli tetusobola kununula bantu kuva mu bwavu. • • • Koseya 4:1-3 Zabbuli 107:33,34 Yeremiya 23:10b Mu kitundu kino, ebisumuluzo mukaaga bijja kubikkula ebyama ebireetedde olukalu lw’Africa okusibibwa mu kikolomo kyo bwavu n’okubikula ekyo kudamu kya Katonda mu kukutula ekikoligo kino. Ekisumuluzo 1: Okwatula Katonda omu yeka Ekizibu: Abantu mu Africa balina ekikoligo ekyabasiba mu bulogo n’okulaguza. Abalaguzi n’abafuusa bali mu bungi mu byalo, era beebuuzibwako ku nsonga nnyingi ddala, gamba ng’okuzaala, ebizibu mu maka, okulwala, n’abaana okukula, okukomolebwa, okukola embaga, no’okwabya olumbe. Abalaguzi baleetebwa okusabira ettaka nti libale ebibala bingi ddala. Egimu ku mikolo gye bakola kwe kusaddaaka enkoko, n’okumansira omusaayi gw’ensolo, n’okusaasaanya amagumba, n’okumansira amazzi nga bawonga ettaka, n’okussa obuwanga bw’ensolo mu buli nsonda z’ettaka. 4 Okusinza emyoyo gy’abajjajja kwe kwenyigira mu kusaamu ekitiibwa abaafa edda nga bassaddaaka, nga bakola obulombolombo, n’okukuba ebirayiro. Okusamira kuno tekukolebwa lwa kwagala wabula mu kutya n’ensisi. • • • • • • Isaaya 8:19-22 Ebyabaleevi 19:31 Ekyamateeka 18:10 Ekyamateeka 5:7,8 Matayo 6:24 Zabbuli 24:3 Ekyokuddamu: Waliwo Katonda omu yekka omutuufu, era tujja gy’ali okuyita mu mwana we Yesu Kristo, eyafa ku musaalaba ku lwaffe, tufune ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo, nga kyabuwa. Kaakano tetukyali mu nkola ey’edda ey’ebyobuwangwa ey’ensi eno, naye twafuulibwa ab’omu nnyumba ye, era tulina omukisa okumanya Katonda nga Kitaffe. Tulina okudda eri Katonda, tumusinze ye yekka mu buli kintu eky’obulamu bwaffe, sso ssi ku lunaku olwa Sande lwokka. Katonda tasekererwa. Engero 3:5,6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo” Ekyawandiikibwa kino kituluŋŋamya mu buwanguzi. Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna: Gwe tulinamu obwesige, gwe twebuuzaako. Teweesigamanga ku kutegeera kwo: Yesu yatuukiriza ekyo kyonna kye yasobola, ssi ku lulwe naye ku lwa Kitaawe. Kitaawe yamulaga eky’okukola, era n’akikola ate n’akikola bulungi ddala. • • • Yokaana 8:28 Yokaana 8:38 Yokaana 5:19 5 Obulamu bwaffe nga bwandibadde bwa kitiibwa, ssinga tutuukiriza ekyo ky’Ayagala mu ffe. Mwatulenga mu makubo go gonna: Mu makubo go gonna kyekitegeereza ddala: mu buli ngeri; mu mirimu, mu bigambo, mu bikolwa, ne mu birowoozo. Ekyo kitegeeza nti tumanyi nga ye Katonda mu kuzaalibwa kwaffe, mu kukula kwaffe, mu mbaga zaffe, mu kufiirwa, mu kuwonyezebwa, mu kuteekateeka ennimiro, enkuba ne bw’ettonya, mu makungula ne mu buli kintu kyonna. Ajja kufuula amakubo gaffe amagolokofu: Mu lukalu lwa Africa twetaagira ddala Mukama okutereeza amakubo gaffe agaakyamira ddala okuva ku suubi elitalina gyebitutwala okumala ebanga lino lyona. Katonda bw’anaagatereeza tujja kuluŋŋamizibwa mu bulamu bwe yatusuubiza obujjuvu. • • Ekyamateeka 8:18 Ekyamateeka 7:13-15 Ssinga tukkiriza nti kino kye kiseera kya Africa, olwo nno tulina okumenya ebifo ebigulumivu byonna eby’obujjajja ebisinzibwako n’ebisinzibwamu ne eby’obuwangwa eby’obusamize ebitukuumidde mu busibe. Olwo nno tulyoke tujje eri Mukama n’emikono emirongoofu, n’emitima emirongoofu okusinza ye yekka, mu Mwoyo ne mu mazima. 6 Ekisumuluzo 2: Lowooza ku makubo go Ekizibu: Yeekaalu z’obulamu bwaffe matongo kubanga tuweereza okufuba kwaffe nga twefaako ffekka, mu makubo agataliiko kigendererwa nga tetutambulira mu makubo ga Katonda. Ssinga ffe ng’abaana ba Katonda, tuli yeekaalu ya Katonda nga bwe yayogera, olwo embeera ya yeekaalu eba efumitirizibwako. Tuteekwa okulowooza ku makubo gaffe! Kaggayi 1:2-11 Lowooza amakubo go. Yeekaalu yange erekeddwa awo. Ebyokulabirako ebimu ku bikolimo bye tulina olw’okubanga amakubo gaffe tegakwatagana na ga Katonda: a) Ekikolimo ky’okuyiwa omusaayi n’okutyooboola eddembe ly’obuntu • Olugero lwa Kayini ne Aberi • Ebyokulabirako bingi mu Africa • Isaaya 59:3 b) Ekikolimo eky’Obutawangaala Mu Zambia, Zimbabwe, Malawi ne Mozambique, omuntu owaabulijjo awangaala wansi w’emyaka 37. • Zabbuli 34:12 • 1 Abassesalonika 4:3 • Abaruumi 6:23 c) Ekikolimo ky’ettaka obutabala bulungi (amakungula matono) Bwe tusoma mu Kaggayi, tulaba nga Katonda y’alina obuyinza okutonnyesa enkuba oba obutagitonnyesa, era nga y’alina n’obuyinza okumerusa ebibala okuva mu ttaka. 7 Ekyokuddamu: Okuzza obujja yeekaalu Mu kufuba kwaffe okuzuula ekyokudamu kya Katonda eri ebibuuzo byaffe byamanyi, ng’obwavu obutwetoolodde, tutandika n’okulowooza ku makubo gaffe kubanga tuli yeekaalu ya Katonda Omulamu. Tuyinza obutasobola kukyusa ggwanga lyaffe, naye buli omu ayinza okulowooza ku makubo ge, ne tukyusa obulamu bwaffe n’oluvannyuma ne tuleetera n’abalala ab’omu maka gaffe n’abo abatwetoolodde okukyusa amakubo gaabwe. Ekyo kiyinza okuleetawo enjawulo ennene ennyo. • • • • 1 Peetero 2:5 Kaggayi 2:18-19 1 Abassesalonika 2:12 2 Abakkolinso 6:16 Kale ffe ng’abaana ba Katonda tweweeyo okuddamu okuzimba yeekaalu ya Katonda mu bulamu bwaffe, nga tulowooza ku makubo gaffe, era tutereera mu makubo ga Katonda, sso ssi mu mwoyo kyokka, wabula mu birowoozo ne mu mubiri. 8 Ekisumuluzo 3: Okutegeera nti Katonda ye byonna mu byonna Ekizibu: Endwadde y’okusaba obuyambi olutatadde kyatandika emyaka emingi egiyise nga ebintu bya’bweerere bigabibwa naye omuze gwokusabiriza gweyongera bweyongezi buli mwaka. Tewali ngeri yonna olukalu lwa Africa weyinza kuzuula maanyi gaayo yokka, okuggyako ng’abantu aba Africa bennyini be bagazudde. Issaya 58 etujjukiza okusiiba okutuufu, n’okusumululwa, n’okuggyawo awamu n’okumenya ekikoligo ekyo. Ekimu ku bisiba eby’amaanyi eby’ekikoligo kino kwe kusaba obuyambi olutatadde. Okuva ku kutondebwa kw’omuntu, agezezaako okwetengerera yebeezeewo yekka, ng’akola ebintu mu ngeri ye, nga yeesiga amagezi ge, okusinga okugoberera amagezi ga Mukama. Ekyo kireetedde omuntu okugwa mu ngeri nnyingi. Ekyokuddamu: Okumanya nti Katonda Amala mu Byonna Mu nnima ya Katonda tetuwagira nkola ya kwemalirira, naye tusanyukira okumalibwa kwa Katonda mu byonna ekitutuusa ku kukola amagoba. Ye nsibuko ya buli kintu kyonna era mu ye mwe tufuna okweyongerako. Okumalibwa kwa Katonda mu byonna tekuggwa, era tewali kigero kubiva mu tterekero lye. • 2 Abakkolinso 9:8 Obuwanguzi bujja nga twenenyezza okwesigama ku muntu, nga naffe ffenyini mwe twetwalidde, bwe tuva ku malala, twewombeeka, ne twatula nti Ye nsibuko ya buli kintu kyonna kye twetaaga. Twetaaga okuzibula amaaso gaffe tulabe ekituli mu maaso. Okutegera okumala kwa Katonda kimenyawo ekikoligo kyokwesigama ku bantu. • 2 Ebyomumirembe 14:11 9 Okumala Kwa Katonda mu ggwe • Ekyamateeka 8:18 Okumala kwa Katonda mu by’obulimi • Olubereberye 2:15 Okumala kwa Katonda mu by’ettaka Ettaka lyatuwebwa Katonda okulilabirira n’okulirima. Ssi lyaffe, lilye. • 1 Abakkolinso 10:26 • Ebyabaleevi 25:23 Okumala kwa Katonda ku Nsigo Katonda bwe yatonda ebimera, yabitonda nga biyinza okuzaala ensigo yabyo. Ensigo ezikyusiddwamu n’eziri mu buttonde bwazo • Olubereberye 1:11-13 Okumala kwa Katonda ku bulangiti ya Katonda Bulangiti ya Katonda oba ekibikka kya Katonda kyekimu ku bintu bya Katonda ku bugabirizi bwe ebyewuunyisa ebireeta amagoba amangi ddala era ag’omuwendo. Laba ensonga 20 mu maaso eyo lwaki tukola bye tukola. Okumala kwa Katonda ku bigyimusa: (Obusa, Ettaka ly’ekiswa, Nnakavundira) Okusobola okufuna amakungula amalungi, tuteekwa okukozesa ebyo by’ebitulina okumpi. Okumala kwa Katonda mu bikozesebwa Mu kitabo ky’Okuva 4:2 Katonda abuuza Musa ekibuuzo: “Kikiky’olina mu ngalo zo?” Musa n’addamu nti, “Muggo.” Kiki kyetulina mu ngalo zaffe, okusobola okumenyawo ekikoligo ky’obwavu, n’enjala eri ku lukalu lw’Africa? Ekyokuddamu ye “Enkumbi.” Okumalibwa kwa Katonda ku by’enkuba n’okwongeza: amakungula Mu bugabirizi bwe, Katonda awa abaana be omukisa, era mu kyo, n’ameza ensigo, era n’ayongeza amakungula. 10 Ekisumuluzo 4: Ky’osiga ky’okungula Ekizibu: Abantu bangi babeera mu bitundu ebitalina mukisa gwa kulaakulana n’akatono. Abantu ab’engeri eyo beeweereddeyo ddala okubeera n’akatono ako ke balina, olw’okubanga balina kye balya nga tebateganye n’akatono ate nga kya bwereere. Bamativu kubanga bamanyi nga waliwo ajja okubawa kyebeetaaga mu biseera we bakyetaagira. Bwe tuneeyongera okwesigama ku muntu obuntu, tujja kusendasenda abaavu okutunuulira ensibuko gye balowooza nti mwe muva obugagga, omuntu ssonga tuteekwa kwesiga Katonda yekka. • 2 Abasessalonika 3:10 “Omuntu yenna bw’aganaanga okukola emirimu, n’okulya talyanga.” Okukola ssi kikolimo, wabula kya mukisa. Abantu abaavu abasinga balina ettaka mu byalo byabwe lye batalina kye balikoleramu. Africa emanyiddwa ng’ekibya ekisabiriza mu nsi yonna, kyokka Katonda ayinza okukyusa embeera eyo, okuva mu mbeera ey’ekibya ekisabiriza n’efuuka ekibbo ky’emmere. Enkola ya Katonda eri nti abantu bakulaakulane okusinziira ku nnono ze. Olwo nno balyoke baweerwe empeera mu bye basiga ne mu bye bakungula, ne mu kubeera abeesigwa n’ebyo bye baweereddwa. Ekyokuddamu: Tuteekwa Okugaba Tulyoke Tuweebwe Bwe tutegeera nti Katonda ye nsibuko y’ebintu byonna era nti ye byonna mu byonna era nti atumala mu byonna, tutandika okulaba okugaba nga kye kyokudamu ku kizibu kyo bwavu. • Ebikolwa 20:35 “Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.” 11 Okukyusa okuva mu ndowooza ey’okuweebwa ne tufuna endowooza ey’okugaba kirina kinene kye kikola ku bulamu bw’omuntu. Kituuka ne mu mawanga nga tubuulira enjiri ya Yesu Kristo. • • Lukka 6:38 Engero 28:19 Mu kulima tewali kyakulabirako kisinga ku nnono eyo mwe tugaba buli kiseera n’okusiga ne tusiga tulyoke tufune amakungula. Tuteekwa okusiga ensigo, ne tuteekamu ebijimusa, ne tukola n’amaanyi, ne tuteekamu ebiseera, ne tulabirira emirimu gyaffe awamu n’okuteekamu ensimbi. Tetuyinza kuba nga buli kiseera tuggyamu buggya kyokka nga tetulina kyetuteekamu. Baibuli egamba nti kyetusiga kyetukungula. 0X0 = 0, 0X100 = 0. Bwe tutasaamu bijimusa mu binnya 22,222, era tetubaaako ne kyetufuna. Bw’otobaako ky’oteeka mu ttaka eddungi, era tobaako ky’okungula Engeri omuntu gy’ayinza okusigamu: Ssiga mu Bungi 2 Abakkolinso 9:6 “Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.” Ssiga na Magezzi Mu bifo ebisinga mu Africa, ensonga enkulu ssi ya kubulwa kya kukola oba okwesaasira, ereetera abantu okuba abaavu, wabula ssonga ya butamanya. • Koseya 4:6 “ Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa okumanya.” Ssiga n’Obwesigwa Ekyama ekiri mu nnima ya Katonda kye kyama ky’okutandika mu ngeri entono n’obeera omwesigwa mu kitono ekyo. • Lukka 16:10 “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa;” 12 Ssiga n’essanyu Endowooza gye tuba nayo nga tugaba nkulu nnyo. • • 2 Abakkolinso 9:7 Nekkemiya 8:10b Okusooka byonna essanyu lyaffe lisibuka mu Mukama waffe, kyokka essanyu eryo liteekwa okubuna mu buli kanyomero k’obulamu bwaffe, awamu ne muu mirimu gy’emikono gyaffe. 13 Ekisumuluzo 5: Okuleeta Ekimu eky’ekkumi n’ebiweebwayo eri Katonda Bwe tulowooza ku mbala ya Katonda, n’obuyinza bwe, n’ebintu byonna okuba ebibye, kisoboka kitya okumunyaga? Mu byawandiikibwa mu Malaki 3, tunyaga Katonda bwe tutawaayo ekimu eky’ekkumi kyaffe n’ebiweebwayo byaffe gy’ali. ekyawandiikibwa kino kyawandiikirwa abalimi n’olw’embeera y’omutima gw’abantu mu biro ebyo, era ekyo kirina kinene kye kikola ku byobulimi. • Malaki 3:7-12 Newaakubadde ng’ekimu eky’ekkumi kiweebwayo mu kkanisa oba ku nsonga endala yonna omuntu gy’aba ayitiddwa okuggiwa, kiba kuddiza Katonda. Eky’amazima Katonda teyeetaaga bugagga bwaffe, wabula kimulaga omutima gwaffe bwe guyimiridde mu kumutegeera bwe tumuddiza nga bwe kitugwanidde. • Matayo 6:21 Ne bwe tuwaayo ekitono ennyo nga nnamwandu bwe yakola, oba ne bwe tuwaayo obukadde bwa dola omwezi, ekyo tekikyusa Katonda ky’ali. Amanyi kye tulina ne ndowooza gye tuba nayo nga tumuddiza. Emirundi egisinga obungi bwe tuwaayo ekitono ng’ekya nnamwandu, kyamuwendo okusinga obukadde bwa dola ze tuwaayo mu nnyumba ya Mukama. Mukama amanyi embeera y’emitima gyaffe nga tetunnaba na kuwaayo, era atugabirira okusinzira ku mbeera y’omutima gwaffe, sso ssi ku muwendo gwe tuwaddeyo. Ekyewunyisa mu kuddiza Katonda kwe kumanya nti ffe tufunamu. Tekyatekebwawo lwa kugyuza terekero naye okuwa omukisa oyo awayo.Addiza Katonda aganyulwa mu ngeri ssatu: 1) Katonda atusuubiza nga bw’ajja okuggulawo enzigi z’eggulu atuyiweko omukisa gwe okutuuka ne ku muyiika. Ngero 3:9 14 2) Katonda yennyini ajja kunenya omulabe, aleme okusaanyaawo ebibala by’ettaka… 3) Katonda ajja kuleetera amawanga gonna okuyita aweereddwa omukisa kubanga ojja kuganja mu maaso ge. Okuddiza Mukama kumuwa kitiibwa n’okwatula mu ngeri ffe ng’abantu gye tutayinza kutegeera. Okuddiza Mukama kituwaliriza obuteelowoozaako ffekka na ffekka, era lwe lugendo lwe tutandika okutambula mu kweweerayo ddala gy’ali, nga tusoosezza Obwakabaka bwe. Ekisumuluzo 6: Simbawo akati awo Tulina okussa Katonda mu nsonga zonna ez’obulamu bwaffe, omwo nga mwe muli ennimiro zaffe.Tuteekwa okununula ettaka lyaffe, ate ng’ekyo kiyina okukolebwa bwe tutegeera nti tusinza ebifaananyi, tusamira, era tuyiwa n’omusaayi ogutaliiko musango, n’engeri endala ezituletede okubeera wansi w’ekikolimo. • Yakobo 5:16 “Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo.” • Engero 15:29 “Mukama aba wala ababi: naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.” • 2 Ebyomumirembe 7:14 “Abantu bange abatumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe” Ng’abantu abafuulibbwa abatuukirivu ba Katonda mu Yesu Kristo, tuteekwa okusaba nga tukkiriza Katonda olw’ekigambo kye n’olw’ebisuubizo bye, ennimiro zaffe n’ebyalo kwe tubeera biryoke birabe omukisa. 15 Tusimbawo akati awo ng’abaana ba Katonda, nga tuteeka Yesu mu buli nsonga ey’obulamu bwaffe. Yesu yatuyigiiza okusaba ng ‘atugamba nti, “… Obwakabaka bwo bujje, by’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu….” Tusimbatutya akati (Tukyusa tutya okwatula kwafe) • • • • • • Obwetoowaze (Yakobo 4:10) Okwetowaza kyekisooka OKunoonya Mukama sso ssi Ebyamagero bye (Ekyamateeka 4:29) Okwatula ebibi n’Okubyenenya Ssaba oliweebwa (Matayo 7:7 ne Yakobo 4:2) Okusaba Okuyimirira mu bwesimbu (Abaefeso 6:10 ne Abaruumi 8:37) Katonda ali ku lwaffe, sso tatulwanyisa, era ayagala ennimiro zaffe ziwebwe omukisa. Tweddize ekyo omulabe kye yatunyagako. 16 Enkola nga tugenda emu ku emu Ekitundu kino kinnyonnyola enkola egobererwa emu ku emu gye tugoberera okusobola okuteeka mu nkola n’okutuukiriza obulungi Okulima mungeri ya Katonda ku ttaka lyo. 1) Ebyetaagisa • Omuguwa Omuguwa gukozesebwa okupima okulaba ng’ebimera biri mu kigero kitufu. Ffuna omuguwa omuwanvu (tosuusa mita 50) omugumu, nga tegunanuuka, ogwakolebwa mu nylon, oba waya (wire) eŋŋumu ng’erina ennyingo. Ttema akati aka sentimita nkaaga (60cm) okupima ng’olamba ku muguwa ogwo. N’oluvannyuma osibe empulutulizo oluuyi n’oluuyi olw’omuguwa. Empulutilizo emu ogisibe ku nkondo emu ku luuyi olumu, n’empulutilizo eyookubiri ogisibe ku luuyi olulala, ng’omuguwa oguleeze. N’oluvannyuma amabanga gali aga sentimita enkaaga (60cm) ogasseeko obukyokolo. Kitegeeza nti obukyokolo bujja kuba sentimita nkaaga (60cm) akamu ku ka nnaako. • Enkumbi • Ebikopo ebipima • Obuti obupima – 60cm ne 75cm • Ebigimusa, oba nnakavundira, oba ettaka ly’ekiswa, oba ekigimusa ky’amadduka • Ensigo • Akagiiko ka kyayi (ml5) • Ekigiiko ekiwuuta ssupu (ml10) • Ekikopo ekipima mililita 350 (ml350) 2) Okuteekateeka ettaka • Ttandika okweteekerateekera okusimba ng’ebulayo emyezi ebiri okusiga kulyoke kutandike • Kkola kitono kyokka buli kintu ng’okikola ku mutindo ogwa waggulu ddala. Ebigimusa by’olina bye biba bikuyamba okuteekateeka ekifo w’onoosimba. Teekateeka ekifo okusinzira ku bungi bw’ebigimusa by’olina. • Totema mavunike. • Toyokya bulangiti ya Katonda wadde okugyibikira mu taka. 17 • • Bw’oba ng’otandika okulima awantu awapya, ggyamu enkonge, n’otereezeewo. Ettaka bwe libaamu omuddo mungi, guwale buwazi, gufuuke ebulangiti ya Katonda. 3) Tekawo empagi w’otandikira ez’enkalakkalira • Ttandikira waggulu w’ennimiro. • Tteeka omuguwa gwe wapimyeko sentimita enkaaga enkaaga obukiika obwakaserengeto. • Ppima diguli kyenda (ensonda entufu - 90 degrees) wakati w’ensalo y’ennimiro yo oba ekkubo n’omuguwa guli ogwasoose. (ensonda entuufu).-p • Tteeka enkondo bbiri waggulu w’ennimiro. • Ddira olupapula oteeke akati aka sentimita enkaaga (60cm) ku ango eya diguli kyenda n’akati aka sentimita ensanvu mu etaano (75cm). 4) Okusima ebinnya Kasooli: • Amabanga: sentimita nkaaga (cm 60) obugazi okuva ekinnya ekimu okutuuka ku kinnya ekirala • Obugazi bw’ekinnya: tukozesa obugazi bw’enkumbi sentimita kkumi na bbiri (cm 12) • Obuwanvu bw’ekinnya: sentimita kkumi na ttaano (cm 15) nga tuteekamu ebigimusa ebyo butoonde. • Obuwanvu bw’ekinnya: sentimita munaana (cm 8) nga tuteekamu ebigimusa ebyamadduka nga DAP fertilizer. • Ekinnya okisima otunudde ekyengulu ettaka ne liyiika ekyemmanga. 18 Ekinya ky'okusimbamu Enkumbi ettaka ligenda wansi wa kinya Akaserengeto Obuwanvu bwa kinya cm15: ekigimusa ky'obutonde cm8: ekigimusa ky'amadduka • • • Tteeka omuguwa ogwa sentimita enkaaga (60cm) ku lunyiriri oluddirira, ng’odda ekyemmanga ng’okozesa akati aka sentimita ensanvu mu etaano (75cm) okupima amabanga amatuufu. Ssima ebinnya mu luniyiriri olwokubiri nga bwe wakoze waggulu, era okole ekintu kye kimu ku lunyiriri oluddirira ng’okozesa obuti buli obwa 60cm ne 75cm. Ddira enkondo ez’eby’ebyuma oba eŋŋumu ddala oziteeke buli nnyiriri kkumi oba amakumi abiri, okutegeerera ddala ennyiriri we ziri. Ebimera eby’ebika ebirala ng’ebijanjalo: • Olw’okuba ng’ennyiriri nfunda nnyo, tetusima binnya, tusima nsalosalo era omwo mwe tusimba. • Omuguwa oguteeka ku lunyiriri, kyokka mu kifo ky’okuguteeka ku binnya ebya sentimita enkaaga, tusima olusalosalo lwa sentimita munaana (8cm) okukka wansi nga tudda ekyemmanga w’ennimiro. • Kebera mu’ndagiriro y’ensimba ey’ebimera 19 Enkondo eyoluberera esooka Ntekateka y'ebinya n'ensalosalo Omuguwa gwosimbirako (ebanga lya sentemita60) Enkondo eyoluberera eyokubiri ekipapula oba ekitabo Akati ka sentemita75 Akaserengeto Ekinya Etakka libera wansi wa kinya 75cm wakati wa lunyriri Akati ka sentemita75 Enyiriri zikirira akaserengeto 75cm wakati wa lunyriri Akati ka sentemita75 Akati ka sentemita75 Ebijanjalo, kawo, omuwemba n'obulo bigenda mu lusalosalo Enkondo Enkondo etakka libera wansi wa lusalosalo Omuguwa oguserengeta 5) Okukendeza okukaawa kw’ettaka • Mu bifo enkuba gy’etera okutonnya ennyingi, ettaka erimyufu liba likaawa era liziyiza ebimera okufuna ebyomugaso bye byetaaga okubikuza. • Layimu ow’ebirime ayamba okukendeeza okukaawa okwo, era ekyo ne kiyamba ebyomugaso okuyingira obulungi mu mirandira gy’ebirime. • Ddira akajiiko akatono akajjudde obulungi layimu (ml 5) okayiwe mu buli kinnya. • Okyayinza okukozesa evvu; tekamu ekijiiko ekiwuta supu nga kijjudde bulunji oba tabulamu ensawo biri mu’ntumo ya nakavundira. 6) Ebigimusa Ebika bibiri: ebyobutonde n’ebitali byabutonde. • • • • Ebyobutonde Nnakavundira, obusa, oba ettaka ly’ekiswa. Okozese ekikopo ekya ml350 oba omukebe ogw’ekipimo kye kimu. Oyiwe mu kinnya kyenkanyi. Singa tukozessa obusa tufuna taani 3-5 ya kasooli buli hekiteya (Ha 1= yika 2.5), taani 2-5 nga tukozesa nakavundira, taani 1-3 nga tukozesa etaka ely’ekiswa. 20 • • • • • • • • • Muu kusimba ebijanjalo, ddira ebigimusa ml 350 oteeke mu lusalosalo oluvannyuma lwa buli sentimita nkaaga (cm 60).Buli kikopo kimala sentemita 60. Bwe guba omuwemba oba obulo, buuka amabanga ga mita emu (m1) mu kifo kya sentimita enkaaga mu lusalosalo. Ebitali byabutonde (Eby’amadduka) Ebika bibiri: eby’omu kinnya nga tonnasimba, ne by’oteekako ng’ekimera kikula. Ku by’omu kinnya kwe kuli DAP oba NPK. Eby’omu kinnya biteekebwa ku ntobo y’ekinnya. Okufuna amakungula amalungi ddala tuteeka 12ml oba ekijiko kiwuta supu ekijjudde DAP ku ntobo y’ekinnya. Bwe biba ebijanjalo tuteeka akajiiko akajjudde (5ml) DAP mu lusalosalo mu mabanga aga sentimita nkaaga (60cm). Ebika By’ombi Bwe tumala okusaamu ebigimusa, tubikkako ettaka lya sentimita nga ssatu. Singa tulimukusimba kasooli tulekawo ebanga erya sentemita 5 ku mutwe gwe kinya; tulekawo ebanga erya sentimita 3 ku mutwe gwo lusalosalo bwe tuba tusimba bijanjalo. N’oluvannyuma tulindirira enkuba ewere bulungi. 7) Okusiga • Ennimiro eteekwa okuba entegeke ng’ekyabulayo wiki nga ssatu tulyoke tusige. Mu Uganda tutera okusiga mu mwezi ogwa Mugulansigo (Omwezi gw’okusatu) ne mu Mutunda (Omwezi Ogwo’mwenda). • Ekisinga kwe kukozesa ensigo ezobutonde kubanga zidamu ne zisimbibwa. • (Kasooli) Tuteeka ensigo ssatu mu buli kinnya, kyokka ne tuggyako embala emu ne tusigaza bbiri mu buli kinnya • Ensigo tuzisiga mu lunyiriri wansi mu kinnya. • Obuwanvu ki ensigo bwelina okutula mu kinnya: kasoli 5cm, ebijanjalos 3cm, engano 2cm. • Bwe tusimba ebijanjalo, buli nsigo tugissa sentimita kkumi okuva ku ginnaayo mu lusalosalo. • N’oluvannyuma tubikkako bulungi ettaka erimulunguse obulungi kyokka ng’ettaka eryo teririimu bifunfugu wadde amayinja newaakubadde bulangiti ya Katonda. 21 • Ekyo bwe kiggwa, tubikkako bulangiti ya Katonda okubuna ennimiro yonna. Ggenderera kino: Ensigo entono ng’eza kaloti, ne dodo, tetuzibikkako bulangiti ya Katonda okutuusa ng’embala zivuddeyo bulungi. 8) Okukoola Omuddo • Omuddo gukendeza kinene nnyo ku makungula, kubanga gulwana n’ebibala ku kufuna ammazi, ebigimusa, ekitangala n’ebanga. • Koola nga omudo gukyali mumpi. Hecta emu (Yika 2.5) esobola okukoolebwa mu naku musanvu ommudo bwe guba gukyali wansi wa nyingo emu. Naye bwolinda omudo ne gutuka ku futi emu kigya kukutwalira wiki biri okukoola. • Bwoba omaze okukoola omudo guba guzewo munaku kumi. Kino kitegeza nti bwotandika ngomudo guli ku nyingo emu oba olina enaku satu okuwumula. Naye bwolinda omudo ne guweza futi emu toli gumala. • Tukoola nga tudda kyennyumannyuma, nga tuwalabuwazi. • Omuddo ogulanda gwetaaga kukuulamu bukuuzi ne gusulibwa wabweru wenimiro. Oba ne tugufuyira ne ddagala nga tewali ndokwa mu nimiro. • Tokkiriza muddo kuzalira nsigo mu nnimiro yo. 9) Okutoola ku mbala (Okutira) • Tutoola ku mbala (okutira) oluvannyuma lwa wiki ssatu nga zivuddeyo mu ttaka, nga ziri okuva ku sentimita 20 okutuuka ku sentimita 30 obuwanvu. • Tutoolako nga tugeerageeranya mbala biri mu buli kinya. Tutunuulira ebinnya bisatu, sso ssi kimu, ne tulyoka tukendeeza embala ne ziba mukaaga buli binnya bisatubisatu: 22 Gyamu ekimera ekinafu oba ekya wakati singa ebisatu byona bimera mu kinya kimu Gyamu ekya wakati gyamu ekinafu gyamu ekinafu Ebimeze ebissatu bileke nga ekimu kimeze mu kinya ekiddako nga nebibiri bimeze mukinya ekidako, nga mu binya bisatu ofunamu ebimera mukaaga Ebimera musanvu mu binya bisatu, gyamu kimu mu kinya ekirimu ebisatu Gyamu ekinafu oba ekya wakati 10) Ekigimusa ekiteekebwa ku ngulu kwetaka nga sambye kasoli • Okufuna ekisingirayo ddala okuba ekirungi, kyetaaga okussaako ekigimusa ekya Ammonium Nitrate (AN) oba Urea emirundi ebiri: Mu kusooka tussaako nga wayiseewo wkiki bbiri oba ssatu ng’embala kye zijje ziveeyo: • Tukozesa akajiko aka 8ml • Tusssa ekyengulu sentimita musanvu okuva ku kikolo Ku mulundi ogwokubiri tusaako nga anatera okumulisa: • Tukozesa akajiko aka 5ml • Tussa ekyengulu sentimita kkumi okuva ku kikolo 23 11) Okukoola nga tunatera okukungula • Ebikoola bya kasooli nga bitandika okukala, ekitangaala kiyitamu ne kituuka wansi, ekyo ne kireetera omuddo omutono okukula. • Tuddamu ne tukoola omulundi ogusembayo mu kiseera kino, okulaba ng’ennimiro yaffe tebaamu muddo. Omuddo ogw’omwaka guno guleetera ebimera eby’omwaka ogujja obutakula bulungi. 12) Okumenyako oluyange • Kasooli ng’akulidde ddala bulungi, tutemako oluyange, kasooli akale mangu. Bye tutemyeko tubisuula muu nnimiro omwo mwennyini, ne tubikozesa nga bulangiti ya Katonda (Okubikka). 13) Okukungula • Twetaaga okukungula kasooli ng’akulidde ddala bulungi, gamba ng’oluvannyuma lw’emyezi ebiri ngoluyange lufulumye, ng’amazze okubunduka. Mu kiseera ekyo kasooli aba akyalimu nga bitundu amakumi asatu ku kikumi eby’amazzi (30%). • Eminwe giteekwa okwongera okukalira mu kifo kasooli mw’aterekeddwa obulungi okutuusa ng’amazzi kumpi gaweereddemu ddala (13%). 14) Okusamba ebikolo ng’okukungula kuwedde • Tukisamba ne kimenyekera wansi ne kigwa mu lunyiriri. • Kyongera ku bulangiti ya Katonda ne kikendeza ku mudo. • Zindiwulira eziba zasigala mu kikolo zifa. 24 Ensonga amakumi abiri kyetuva tukola bye tukola Ebiyimirirwako mu kulima mungeri ya Katonda… Toyokya newaakubadde okubikka bulangiti ya Katonda mu ttaka; totema amavunike, Tosimba ensigo emu mu kifo kimu buli sizoni Toyokya….. Bulangiti ya Katonda oba okubikka kulina amaanyi agatagambika, mu kutuukiriza ebisuubizo bya Katonda mu nnimiro zaffe. Kikamyawo obutonde bwe taka olwo etaka ne liryoka liwona. Totema amavunike….. Mu biro bya Baibuli, abantu balimisanga ebifumu obutatankulanga ttaka, kyokka nga lisigala ligonvu, obutaka wansi, era omwo nga mwe basiga. Tosimba ensigo emu mu kifo kimu buli sizoni….. Ekyo kiyamba ettaka okusigala nga likyali ggimu era nga n’ebirime nabyo bifuna bye bisinga okwetaaga okuva mu lyo. Emigaso gy’okulima ngeri ya Katonda gyogerebwako wansi: Ebifunibwamu ebyawamu 1) Obutafiirwa mazzi Mu nnima eya bulijjo: ebitundu kyenda ku kikumi (90%) eby’amazzi ge gakulukuta ng’enkuba ettonye, ne gatayingira mu ttaka. Mu kulima ngeri ya Katonda: ebitundu mukaaga ku kikumi (6%) byokka eby’amazzi ge gakulukuta ng’enkuba ettonye 25 2) Ettaka eritwalibwa mukoka ttono Mu nnima eya bulijjo: obuzito bwa ttani 55 -250 ez’ettaka ze tufiirwa okuva ku buli hectare buli mwaka mu Africa. Mu kulima mungeri ya Katonda: ettaka ttono nnyo eritwalibwa mukoka okuva ku buli hectare buli mwaka. 3) Okusobozesa amazzi okuyingira mu ttaka Mu nnima eya bulijjo: enkuba buli bw’ettonya, amatondo g’enkuba, gakola ekifunfugu, era n’ekivaamu mu ekyo, 10% ku mazzi g’enkuba ge gayingira mu ttaka. Mu kulima mungeri ya Katonda: Bulangiti ya Katonda ekuuma ettaka nga ggonvu, amatondo ago ne gatakola ekifunfugu, 94% ku mazzi ng’enkuba ge gayingira mu ttaka. 4) Okukendeeza okufuumuka kw’amazzi Mu nnima eya bulijjo: 10% ku mazzi ag’omu ttaka ge gafuumuka okuva mu ttaka, olw’okufula ettaka. Ekyo kiretera ettaka okubuguumirira ennyo n’ekivaamu, kwe kufuumuka kw’amazzi ago. Mu kulima ngeri ya Katonda: Bulangiti ya Katonda ebikka ettaka, ne girikuuma nga goonvu era nga n’amazzi tegafuumuka. 5) Obunnyogovu mu ttaka buyamba nnyo mu kukuuza endokwa Mu kulima mungeri ya Katonda, embala zilwawo okuvaayo, kyokka bwe wayitawo wiki nga ssatu, nga zivuddeyo, endokwa ezo ziwangaala nnyo, era ziyisa na ziri ezivudde mu nsimba eya bulijjo. Ettaka erinnyogovu lye lisinga obulungi ku kukuza obulungi emirandira, awamu n’okukuza obulungi ebimera. 6) Obutagayaalirira enkuba esooka Mu nnima eya bulijjo: Abantu batera okulinda ekire ekisooka eky’enkuba okuttonnya nga tebannakabala, n’oluvannyuma ne basiga ng’ekire ekyokubiri kiyiise. Mu kulima ngeri ya Katonda: Tuteekateeka ennimiro ng’ekire ekisooka eky’enkuba tekinnattonnya. Ekire ky’enkuba ekisooka we kijjira, ne tulyoka tusimba. 7) Okukendeeza Omuddo mu nnimiro Mu nnima eya bulijjo: Okukabala n’okulimaalima kuletera omuddo okumeera. Mu kulima mungeri ya Katonda: Tewali kukabala era tubikka kikumi ku kikumi okulaba nga tukendeeza kinene ku kumera 26 kw’omuddo. Okubikka enyo y’engeri yokka ekakasibbwa nti ekuuma ennimiro nga teriimu muddo, na ddala omuddo ogulanda Emigaso egiva mu ttaka erirabiriddwa obulungi 8) Okwongera ku Mazzi agaterekebwa mu Ttaka Ettaka eritakabalibwa liringa ekyangwe mu kutereka amazzi. Ekyo kitegeeza nti ettaka lisobola okugumira ekyeya ne libala amakungula manji. 9) Okwongera ku bugimu Emyaka bwe gigenda giyita, bulangiti ya Katonda egenda yeeyongera okuvunda, olw’omulimu gw’ebiwuka n’ebitonde ebirala ebiri mu ttaka. Ekyo kireetera ettaka okufuna ebyomugaso bingi, ne kyongera ne ku bugimu bwalyo. 10) Okuteeka Nitrogen mu ttaka olw’okukyusakyusa ebirime Obugimu bw’ettaka bweyongera bwe tukyusakyusa ebirime gamba ng’ebijanjalo oba soya oba ebinyebwa ebiteeka Nitrogen mu ttaka. Nitrogen ateekeddwamu aba aja kukozesebwa ebirime ku mulundi ogw’okusimba oguddako. 11) Okukendeeza obukalubo bw’ettaka Mu nnima eya bulijjo: Ettaka erikabale likubibwa nnyo amatondo g’enkuba, ekyo ne kireetera obutuli omuyita empewo mu ttaka okuziba. Okukabala kuleetera ettaka okwekatira awamu. Ekivaamu kwe kufuna obukalubo obwa sentimita nga amakumi abiri oba asatu (20-30cm) mu kukka kwe taka. Mu kulima mungeri ya Katonda: Ettaka ligenda lyeyongera mu bungi bwalyo, nga lirimu emikutu emikadde egirekeddwawo ebimera ebyavaamu edda okusobola okukuza obulungi ebimera eby’emyaka egiddirira. 12) Emikutu gy’empewo mu ttaka Ettaka okufaanana ng’ekyangwe nga sirikabale, nga mulimu n’emikutu ebiwuka mwe biyita, nga n’emirandira givunda bulungi, kireetera emirandira okussa obulungi, obudde ne bwe buba nga bw’amataba. 27 13) Obuwuka bw’omu ttaka Waliwo ebika bibiri eby’obuwuka obwo: obukozesa *oxygen n’obutakozesa oxygen *(omuka abantu gwebassa guyitibwa oxygen). Mu nnima eya bulijjo: Bwe tukabala tuziika obuwuka obukozesa oxygen ne budda mu kifo kya buli obutakozesa oxygen, ate obutakozesa oxygen ne budda mu kifo kya buli obukozesa oxygen. Ekivaamu kwe kufa kw’obuwuka obwo bwonna. Mu kulima ngeri ya Katonda: Kyokka bwe tutayokya bulangiti ate ne tutakabala, embeera ey’omu taka esigala nga bwe yatondebwa Katonda, nga ne ttaka linnyogovu bulungi era nga linnyuukirivu. Etaka egimu letaka edamu. Emigaso mu by’enfuna 14) Okuziyiza Ebiwuka n’Endwadde Ebimera ebifuna amazzi amatono oba ebiriisa ebitono birina ekitangaala kye bireeta, era ekiva mu ekyo kwe kulumbibwa ebiwuka n’endwadde. Mu kulima ngeri ya Katonda ebimera birama ne bikula nga bijimu bulungi. Etaka liba ddamu bulungi, era kizibu obulwadde okuwangaaliramu ne bubuna ebimera. Okukyusakyusa ebimera nakyo kiziyiza endwadde okubuna.. 15) Okukendeeza ebbanga n’ensimbi bye tumala nga tutegeeka ennimiro Mu nnima eya bulijjo, kitwalira omulimi ebbanga ddene n’ensimbi nnyingi okuteekateeka ennimiro ye, na ddala bw’aba ng’akozesa ebyuma ebirima nga tulaketa n’ebirala. Oluusi kitwalira omulimi wiki kkumi okweteekerateekera okusimba. Kyokka mu kulima mu ngeri ya Katonda, omulimi asiima busiimi binnya mu wiki mukaaga zokka nga yeteekerateekera okusimba. 16) Ebigimusa bitono bye tufiirwa Buli mwaka ebigimusa bingi nnyo nnyini mu miliyooni za ttani ebitwalibwa mukoka. Kyokka mu nnima ya Katonda, mukoka abeera mutono ddala, era n’ebigimusa ebiteekebwamu tebitwalibwa mukoka, bisigala mu ttaka ne biyamba n’emirandira okuwanirira obulungi ebimera mu binnya byabyo. 28 17) Obumalirivu bw’ettaka Okuwona Ekyeya nokukendeza obubenje Ettaka lisobola okuwona ekyeya okusinzira ku bintu bisatu: • Obungi bwa bulangiti ya Katonda (obungi bw’ebisubi bye tubissa ennimiro) • Ettaka eriyiika obuyisi sso ssi erikutte awamu • Omuwendo gw’ebiramu ebiri mu ttaka Kiba kirungi okukyusakyusa ebirime mu ngeri y’ekimu kya kusatu buli mwaka Kiyamba mukukendeza obubenje bwe waba embeera mbi egudewo ng’ ekyeya oba endwade. 18) Kukundeze ku beyi y’okufukirira Bwe tulima ngeri ya Katonda tufukirira kitono ddala olw’amazzi agabeera mu ttaka olwa bulangiti ya Katonda egakuumiramu nolwobutafuula taka. 19) Ebibala Bikula nga Tebirirna kufuba bufubi Ebirime tebifuna buzibu bwe bisimbibwa mu ngeri ya Katonda kubanga biyita mu kugezesebwa ne bikula bulungi nnyo. Emirandira gimera mu bulangiti ya Katonda, teginoonya nnyo byamugaso wansi mu buziba mu ttaka. Bulangiti eba evunda nga n’ekimera bwe kifuna ebigimusa byonna. 20) Okubisamu okwa Amakungula Taata wa Dickson yafunanga ensawo ssatu buli mwaka. Dickson bw’asikira ettaka eryo, yakyusa ennima ye okuva mu ya bulijjo n’adda ku nnima ng’eri ya Katonda era ebyavaamu bye bino wansi. Dickson: Omwaka ogusooka, ensawo ttaano; Omwaka ogwokubiri, ensawo amakumi ana mu ttaano; Omwaka ogwokusatu, ensawo amakumi ataano mu nnya; Omwaka ogwokuna, ensawo nkaaga mu mwenda Yusufu: yatandikira ku nsawo musanvu, omwaka gugenda okugwako ng’akungula ensawo nsanvu. George: Yafunamu yakubisamu emirundi mwenda okuva ku kiri kye yasooka okufuna. 29 Endabirira Ekigenderwa ekikulu mu kulima ngeri ya Katonda kwe kufuna amagoba ag’enkalakkalira. Tulina engeri nnyingi gye tuyinza okulaba nga tutereka ebyobugagga bye tuggya mu kulima ngeri ya Katonda, gamba nga ettaka, amazzi, ebiriisa ebiri mu ttaka, ebiseera bye tumala nga tweteekerateekera okusimba, n’ensimbi. Kyokka ennima eyo bw’eba ey’okuba ey’omugaso eri omulimi era n’emutuusa ku ssa ey’okuganyulwa endabirira eteekwa okulongooka. Ebisumuluzo 3 eby’endabirira mu Kulima mungeri ya Katonda kwe kukola ebintu mu kiseera, ku mutindo ogwa waggulu ate nga tetwonoona Ekisumuluzo 1: Mu Kiseera • • • • • • • Olubereberye 1:14-19 Katonda bwe yatonda ensi kyatuwa kwe tutandikira okutegeera ebiseera. Katonda yatonda ennaku, n’emyezi, n’emyaka n’ebiro. Omubuulizi 3:11 “Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo.” Okuteekateeka ennimiro mu biseera ebitali bya kusiga. Okukuŋŋaanya ebigimusa, ne bulangiti ya Katonda n’ensigo. Okuteekateeka nnakavundira ebiseera eby’okusiga nga tebinnatuuka. Okusiga mu kiseera. Wano mu Uganda tuteekwa okuteekateeka ennimiro mu Gatonnya ne Mukutulansanja ng’aggwako okwetegekera enkuba ya Mugulansigo, ate ne tuddamu okuteekateeka ennimiro mu Muwakanya ne tusimba mu Mutunda. Okukoola mu kiseera. 30 Ekisumuluzo 2: Ku Mutindo Ogwa Waggulu Buli kintu Katonda ky’akola akikola ku mutindo ogwa waggulu. Omutindo ogwo Katonda yasooka okugwolesa ng’atonda ensi mu kitabo ky’Olubereberye essuula 1. Bwe yamala okutonda ensi n’alaba nga ky’akoze kirungi • • • • • • • • Omuguwa ogupima – ennyiriri entereevu nga n’amabanga gali nga bwe gateekwa okuba. Enkondo ezoluberera - okusimba mu binnya bye bimu buli mwaka. Ebinnya biba sentimita nkaaga ku sentimita nsanvu mu ttaano (60x75), n’okukka okusinzira ku bigimusa ebiteekeddwamu (kasooli). Okusimba ensigo ssatu mu lunnyiriri mu buli kinnya (kasooli). Tuteekwa okuba n’ebikolo bya kasooli 44,444 buli hekiteya (yika 2.5), nga tumaze okulamu. Okulaba ng’ennimiro nga nkoole bulungi omwaka gwonna. Okulaba nga bulangiti ya Katonda ebisse wonna kikumi ku kikumi. Okuteekamu ebigimusa mu bipimo byabyo. Ensonga etusimbisa mu binnya bye bimu buli mwaka: • Ebiriisa ebiba bisigaddemu okuva ku mwaka oguyise biyamba nnyo ebimera ebijja eby’olusimba oluddako. • Ettaka lyeyongera okugonda. • Emirandira egiba givunze egy’ebimera ebivuddemu byongera ku bugimu bw’ettaka era ne gikola n’emikutu emirandira emiggya mwe giyita okufuna amazzi obulungi. • Okulinnyirira ettaka kubaawo mu mabanga mwokka. • Ettaka teritawaanyizibwa nnyo era n’omuddo ogwandimezeemu tegukula mangu. Buli kintu ekyogeddwako ku nsonga ey’omutindo ogwa waggulu kiriwo kutuyamba, sso ssi kutuukiriza mukolo. Ensonga ezo zalowoozebwako era ne zekkenyezebwa okulaba ng’omulimi afuna amagoba agasingirayo ddala okuba amangi. • Abakkolosaayi 3:23 “Buli kye munaakolanga mukolenga n’omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe sso ssi ku lw’abantu” 31 Ekisumuluzo 3: Nga Tetwonoona Mu Baibuli tulaba ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obutayonoona, Yesu kye yalaga ng’amaze okuliisa abantu enkumi taano (Matayo 14:14-21) Ebyokulabirako ebiraga Katonda bw’atayonoona: • Enkozesa y’amazzi; gatonya ne gafumuuka ne gakola ekire ne gadamu okutonya • Enkozesa y’eby’omu taka, munsi ne mu banga Okwonoona Kwa Bantu: • Okutema ebibira • Okusaawa n’okwokya nga tulima • Mukoka atwala etaka ery’okungulu • Amazzi amangi agakulukuta ne gagenda obugenzi • Okulima ebibangirizi ebinene kyokka ng’amagoba agavaamu matono ddala nakyo kiraga okwonoona Okulima mungeri ya Katonda kitukubiriza obutayonoona nga tukola ebintu bino wa mmanga: • Nga tukendeza obwetaavu bwe ttakka nga twongera ku bunji bwa makungula mu kifo kyekimu. • Okulabirira ettaka • Enkuba bw’etonnya eyingira bulungi mu ttaka • Okuziyiza mukoka • Okukuumira amazzi mu ttaka • Obugimu bw’ettaka obwo buttonde • Amabanga amatufu gayamba ebikoola okwatagana ne bibika ettaka • Ebigimusa bikozesebwa bulungi • Ebiseera n’ensimbi birokolebwa 32 Okufundikira Kyewuunyisa nnyo okulaba nga bwe tuteeka mu nkola, ebisumuluzo ebyo ebisatu ebyogeddwako waggulu, kituwa essanyu lingi nnyo mu milimu gye mikono gyaffe. Jjukira nti bw’osiga mu ssanyu, okukungula mu ssanyu. Kyokka bw’osiga nga wemulugunya, okungula wemulugunya. • 2 Abakkolinso 9:7 “Buli muntu akolenga nga bw’amaliridde mu mutima gwe; ssi lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Amagoba ge tufuna mu kukola no’bwegendereza kyakubiri ku kuyitibwa abaana ba Katonda. Twetaaga okukola buli kintu nga abakolera Mukama, n’ebibala byonna eby’Omwoyo Omutukuvu nga bujulizi mu kukyusibwa kwobulamu bwaffe. 33 Okukola Nnakavundira Ennyanjula • • • • • • • Nnakavundira bye bintu eby’omu ttaka ebivunze nga bikoleddwako obuwuka obw’omu ttaka. Mu kifo ky’okukozesa ebigimusa, nnakavundira asinga. Abalimi bwe bakozesa nnakavundira bafuna ekigendererwa kye kimu, oba n’okusingawo na ddala bwe bakikozessa mu banga gwanvu. Kiyamba okuzawo obutoonde bwe ttaka no kuzza obbuja obuwuka obwo muttaka. Tuwebwa amagezzi okola entuumo mu bipimo ebituukidde ddala; obuwanvu mita bbiri n’obugazi mita bbiri n’obugulumivu mita bbiri. Entuumu eyo bw’eba ekoleddwa bulungi, emala bulungi mu eka emu eya kasooli. Okubirizibwa obutakendeza bipimo wansi wa mita 1.5 ne mita 1.5 ne mita 1.5. Tutandika okukuŋŋaanya ng’enkuba etonnya, ng’ebikoola bya kiragala. Ebikozesebwa Nnakavundira akolebwa ebintu ebikulu bisatu: Nitrogen, n’ebiramu byonna ebya kiragala n’ebintu ebikaze obulungi byonna. 1) Nitrogen Component • Ku ntuumo yonna, tuteekako ebitundu kkumi ku kikumi (10%), oba ensawo eza kilo ataano ataano, kkumi na ttaano eza kalimbwe obo obusa. • Singa obusa tebufunika, kozesa ebisimbe bya enva endirwa nga bikola entumo ya m3 4. • Nitrogen oyo ge mafuta agaleetera entuumu eyo okuvunda n’okukola nnakavundira. 2) Ebiramu ebya kiragala • Ku ntuumu yonna, tuteekako ebitundu amakumi ana mu bitaano ku kikumi (45%). • Buli kitemebwa nga kyakilagala ne bwe kikala kikola. 34 3) Ebintu ebikaze obulungi • Ku ntuumo yonna, tuteekako ebitundu amakumi ana mu ttaano ku kikumi (45%). • Ebintu ebikaze ng’ebikongoliro, n’ebitiiti by’embaawo bikola bulungi nnyo bye bisikiriza obuwuka n’ebiringa ebyo okwongera ku kuvunza. • Essubi, n’ebikoola ebikaze, n’omuddo gwe tukoola mu nnimiro byongera kubunene bw’entuumo. Ebikozesebwa biteekwa okukuŋŋaanyizibwa mu ntuumo ez’enjawulo okutuusa nga biweredde ddala bulungi. Okukola entuumo emu • • • • • Okusigaza ebipimo ebituufu kikulu nnyo. Tuteekwa okukola entuumo emu ennene nga tukozesa bye twayogeddeko waggulu eby’emirundi esatu mu mitendera. Tuteekwa okunnyika ebya kiragala n’ebintu ebikaze mu mazzi amangi nga tetunnabiteeka ku ntuumo. Tutandika nomutendera gwa sentimita amakumi abiri ez’ebyo ebikaze (20cm), ne tuzaako ogwa sentimita amakumi abiri ez’ebya kiragala (20cm), ne tusembyayo obusawo bubiri obwa kilo amakumi ataano obw’obusa oba kalimbwe. Yongera okudiŋŋanamu emitendera okutussa bwotuka mita 2 obuwanvu. 35 Ensawo biri ey'obusa Omutenderagw'ekilagala cm 20 Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm20 Ensawo biri ey'obusa Omutenderagw'ekilagala cm 20 Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm 20 Ensawo biri ey'obusa Omutenderagw'ekilagala cm 20 Kiw Omutendera gw'ebintu bikalukalu n'obutititi cm20 Ensawo biri ey'obusa Omutenderagw'ekilagala cm 20 Omutendera gw'ebintubikalukalu n'obutititi cm20 Ebbugumu oba obunnyogovu • Ebbugumu ly’entuumo liteekwa kubeera wakati wa 55°C ne 68°C sentiguleedi. • Ebbugumu eryo liteekwa okukuumibwa okumala ennaku ssatu, okutta ensigo n’endwadde zonna. • Tuteekwa okukozesa ekipima okumanyira ddala ekituufu. • Engeri ennyangu kwe kukoseza oluuma olugazi oluli milimita munaana (8mm), nga luwanvu bulungi (futi 4). Bw’oluteeka mu ntuumo ne lumalamu edakiika, nooba ng’osobola okulukwatako okumala obutikitiki butaano. Bw’oba ng’osobola okulukwata okumala obutikitiki butano kitegeeza nti ebbugumu likyaali wansi wa 68°C. Naye bw’oba nga tosobola ku lukwata, kitegeeza nti ebugumu lituuse ku 70°C otekwa okufuula entuumo. 36 • • Ebbugumu bwe lisukka ku nsanvu (70°C) litta obuwuka obwobutoonde ne bumalamu amanyi mu nakavundira. Nnakavundira aba akula nga nokuwola awola bwe wayitawo wiki 6-8. Okufuula entuumo • Okufuula okusooka kubaawo mu nnaku ssatu ezisooka, ng’ebbugumu terinnasuka ku nsanvu. • Entuumo ekyusibwa n’eteekebwa mu bbanga eriri awo okumpi nalyo ng’obuwanvu lya mita bbiri n’obugazi nga lya mita bbiri. Tukozesa enkumbi ey’amannyo oba enkumbi eya bulijjo, ebibadde ebweru w’entuumo tubissa munda, ate ebibadde munda ne tubissa ebweru. • Enfuula eno ekuuma ebugumu etuufu, n’etabula ebikozessebwa, ne leeta ebyebweru munda ne bifuuna ebugumu, ne kileetera omuka munda ne kisobozesa okukebera obubisi bwa nakavundira. • Entuumo bwe tafulibwa kigireetera okuvunda obubi, n’ekivaamu kwe kuwunya obubi, n’okufuna nnakavundira omubi. • Endagiriro ennyangu kwe kufuula entuumo eno omurundi gumu buli luvanyuma lwa nnaku ssatu okumala ennaku mwenda. Oluvannyuma nofuula emirrundi ena oba etaano mu buli nnaku kumi. • Oluvannyuma lwe’myezi ebiri, okufuula kuba kuwedde. • Okufuula bwe kuggwa, nnakavundira tumuleka okumala emyezi emirala ena nafuuka ekigimusa. Amazzi agalimu • Amazzi gakalira olw’ebbugumu, era twetaaga okwongeramu. • Gezaako okukuma obungi bw’amazzi nga buli ku bitundu ataano ku kikumi (50%). Kino kigezzesebwa bwe tukamula nnakavundira. Amazzi bwe gatonnya, ekyo kitegeeza nti nnakavundira mubisi nnyo. Kyokka bwe mutavaamu ttondo lya mazzi ne nakavundira ayikayika kitegeeza nti amazzi matono, wetaaga okwongeramu. Naye bwokamula nga temuva ttondo naye nakavundira yekutte ekitole kitegeza amazzi gamala. • Ku ngulu essubi oba omukeeka mungeri ya kaserengeto obutaleka mazzi okulegamako, entuumu ereme okunnyogoga ennyo. 37 Ebiraga nga Nnakavundira Mulungi • Erangi aya katakketakke • Aba awunya bulungi sso ssi ng’ekivundu • Aba akukumuka • Muteekwa okubaamu obuwuzi obweru obulaga ebivunza Nnakavundira ayinza okuterekebwa okumala emyaka mingi, nga tayononese. Ate okumukola kyetaga manyi goka. Nnakavundira gwe tuteekwa okukozesa ku buli nnimiro, nga tulaga nga bwe tuli abeesigwa n’ebyo Katonda by’atuwadde era nti Katonda amala mu byonna. 38 Okubera n'obutonde by’enjowulo mu nimiro nga tukyusakyusa ebirime Mukulima mungeri ya Katonda twagala obazamu amanyi abalimi okubeera nebitonde by’engyawulo mu nimiro zabwe nga bakyusakysa ebirime, okusimba ensigo nga tonaba kukungula ezibaze, n’okusimba ebimera ebileeta obugyimu mutakka n’ebibika. Okukyusakyusa ebirime • • Okukyusakyusa ebirime kuteekwa okubeerawo buli luvannyuma lw’emyaka esatu. Ennimiro yeetaaga okugabanyamu ebitundu bisatu ebyenkanankana; ebitundu ebisooka ebibiri tusimbamu ekirime nga kasooli, ate ekitundu ekyokusatu ne tusimbamu ekirime kye tukyusakyusa, gamba ebijanjalo. Omwaka Ekitundu 1 Ekitundu 2 Ekitundu 3 • • 1 Kasooli Kasooli Bijanjalo 2 Bijanjalo Kasooli Kasooli 3 Kasooli Bijanjalo Kasooli Kimu kyakusatu eky’ennimiro kibeeremu ekirime ky’okyusakyusa. Okukyusakyusa kulwanyisa endwadde n’ebiwuka ebibi; kyongera ku bulungi bwe ttaka n’obugimu bw’alyo, kiwa amaka eby’okulya ebyomugaso nga ebigimusa ne bibala ne kiyamba ne kunfuna y’ensimbi mu maka. Ebigobererwa ebya bulijjo: • Kyusa kyusa ebifo mwosimba emere otekewo enva endirwa. Nawabadde Enva endirwa simbawo emere. • Mu nnimiro tussaamu ebimera ebiteeka nitrogen mu ttaka gamba ng’ebijanjalo, soya, kawo, ebinyeebwa, n’enkolimbo. Kiyamba bwe tuteekamu ne lumonde oba enva endiirwa nga dodo oba emboga. • Ekitundu ky’enva kisobola okusalibwamu ne kitusobezesa okusimba enva za mirundi mingi. Ekileeta endya enuungi mu maka. 39 Entekateka y'enyimiro ennene akaserengeto Enkondo 1 Omuguwa gwosimbirako (ebanga lya cm60) Enkondo 2 ENIMIRO 1 KASOLI Enyiriri 10 oba m7.5 Enkondo 4 Enkondo 3 ENIMIRO 2 KASOLI Enkondo 5 Enyiriri 10 oba m7.5 Enkondo 6 Enyiriri 10 oba m7.5 ENIMIRO 3 ENVA ENDIRWA Enkondo 8 Enkondo 7 Kyakulabirako nga tukyusakyusa ebilime Okuzamu Okuzamu kwe kusimba omurundi ogwokubiri nga ebimera ebisooka bikuze naye nga tonaba okubikungula. Kilungi okolebwa mu bifo ebirina obusobozi nga ettaka elirimu amazzi ate nga gimu bulungi. Wegendereze obutayanguyiriza kuzzamu nga ekisooka tekinakula kubanga ekisooka tekijjakubala bulungi. Ekyokulabirako eky’okuzamu kwe kusimba enkolimbo mu kasooli nga akuze. Okuzamu si kyekimu nokutabulatabula ebimera ebyenjowulo mu niimiro emu nga abatabula ebijanjalo wakati mu kasooli. Tetuwagira okugatagata ebimera 40 Ebimera ebisimbibwa olwokukuuma nokwongera obugimu mu ttaka Ebimera bino bikozesebwa okumala emyaka mingi era nebisangibwa nga birungi. Byongera ku kubika kwe taka, bikola obugimu mu taka (Nitrogen), bikuuma ettaka nga gimu, biziyiza omudo okumera, biziyiza mukoka, ne bikola emere enungi eyensolo, byongera kunfuna ate ne bikola ng’emere y’abantu. Okusimba bino obanga akola nakavundira naye nga tokozesa amaanyi mangi wadde amazi nga byokozesa ngokola nakavundira. Mu Uganda tuwebwa’magezi okubisimba mu nkubu eyokubiri. Ekyokulabirako kyebibala binno: • Ebika by’ebijanjalo (bikola ibizimbe ku malandira): Lab-lab, Makuna, Kawo, Alfa Alfa. • Ebika ebiwembawemba: ngano (wheat), rye, oats. Kawo ne ngano bikozesebwa ne mu kuzamu. Endagiriro y’ebirime eby’enjowulo : Endagiriro y’ebirime eby’enjowulo (mu’nkuba >600mm) mu hekiteya Ebirime Kasoli Engeri yokusimba Obuungu b’wensigo Amabanga Obuwanvu bwo’kusimba Sanifulawa Pamba Omuwemba Ebinya ebinkalakalira Soya Kawo Ebinyebwa Nsalosalo kg/ha 30 6 25 10 160 60 80 Wakata wa lunyiriri 75 75 75 75 75 75 Split to 37.5 Mu lunyinriri 60 60 60 10 5 10 8 5 2 2 2 1.5 2 3 1 cm Simba Empeke/kinya 3 3 5 1 1 1 Tolu ku mbala ofune Empeke/kinya 2 2 1-2 1 1 1 1 44 444 44 444 33 333 133 333 266 667 133 333 333 333 Obungi bwensigo Amakungula gosubia embala/ha 5-7 2-2.5 2-2.5 2-2.5 1.5-2 1.5-2 1.5-2 Nnakavundira/obusa/ Obuneni bwe kikopo (ml) ettaka l’akiswa Ensawo y 50kg/ha 350 350 350 350/m 350/m 350/m 350/m 156 156 156 94 Obunene bwe kikopo (ml) 12 8 8 293 196 196 1) Obunene bwe kigiiko ml 8 Ekigyimusa 2) Obunene bwe kigiiko ml 5 ekigenda wagulu Obungi kg/ha 246 5 5 12 94 94 136 Ekigyimusa kya’madduka Evvu Layimu y’enimiro tani/ha Obungi kg/ha Obunene bwe kikopo (ml) Obungi kg/ha Obunene bwe kikopo (ml) Obungi kg/ha 94 94 8/m 5/m 117 73 188 8/m 147 12 12 /m 203 122 243 5 5/m 5/m 133 80 160 41 12 /m Okugaziya Okuloota ekirooto ekye’nima ya katonda kuyamba abaavu okulabanga bagibwako ikikolimo kyobwavu ne bazuula ekyo Katonda kye yabategekera. Omusingi Gwa Baibuli Oyinza okwebuuza nti, “Nze ani Mukama?” Muli baana ba Katonda Ali Waggulu Ennyo. Yesu agamba nti, “Nga bwe ndaba Kitange bw’akola, nange bwe nkola. Nga bwe mpulira Kitange bw’ayogera, nange bwe njogera.” Twetaaga kugondera bugondezi Yesu Kristo ky’atulagira era ky’atulaze. Yajja kuweereza, n’okulaga abaavu ekkubo, awamu n’abalwadde endwadde ez’omwoyo n’ez’omubiri, n’okubalokola bafune obulamu obujjuvu. Tulina omukisa ogwewunyisa okukola kino nga tuyita mu kozesa ekikozesebwa kino eky’Enima ya Katonda. Nga tutukiriza okuyitibwa kwa Katonda mu Isaya 58; okusiiba katonda kweyalonda. Mukola ekyo tufuna omukisa okuweereza Kabaka nga mu Matayo 25:35 bwe kigamba, ne tubeera mu mikisa gye nga tuyamba abaavu ne abanaku. (Zabbuli 41:1-3). Enjiri eyo bigambo ne bikolwa esoobola okutekebwa munkola ku lukalu lw’Africa okumenya ekikolimo kyo’ bwavu no kujjawo ekikooligo kyo kunyigirizibwa. Abantu ba Katonda bayinza okwekolamu ekibinja ekimala okuleeta obubaka buno obwesuubi eri abatalina suubi. Kitandika naawe Bw’onooba wa kuba mulimi alima mu ngeri ya Katonda, oteekwa okutendekebwa era n’ossa mu nkola ebyo by’oyize. Kiba kirungi okutandika mu ngeri entono n’oluvannyuma n’oyongerako mu kukiriza. Weyongere mukutendekebwa mu misomo gino egy’enjawulo egibaawo, okwongera okunyweza ekyo ky’oyize. Bwoba wandyagadde okufuuka omusomesa omutendeke akirizibwa okusomesa Enima ya Katonda oba weetaga okwewayo mu kutendekebwa ne mu engeri yo kweyisamu nabantu. 42 Bino birimu: • Okwegata mukutendekebwa ekitono enyo emirundi essatu. • Okusimba nokulabirira ennimiro yo Enfukirire Obulungi kubwa luutu emu. • Okwenyigira mu buweereza nokulabanga oyamba abalaala mw’ekyo. • Omu kubakadde b’enima ya Katonda bwa’namatiranga oyize ojjakukirizibwanga okutendeka abalala ngo’kolagana na’bakadde. Jjukiranga Enima ya Katondo ssi kitongoloe wabula ekikozesebwa ekyawebwa omubiri gwa Kristo. Tetugezaako kukizimba mu Nima ya Katonda wabula okutendeka nkozesa Enima ya Katonda. Twagala kusindika nkuumi nenkuumi z’abasomesa basobole okugaziya obubaka buno obwe suubi wansi wa makanisa ne bitongoole. Okukozesa Enimiro Enfukirire Obulungi Mukugaziya Enimiro Enfukirire Obulungi yengeri enungi mukugaziya Enima ya Katonda. Enimiro zino entono (mita 6 ku mita 6) zisobozesa okutendekebwa nokukola abagoberezi abalimi mu bitundu byabwe. Tekyetagisa ssente nnyingi ate kitwala obudde bwa sawa 2-3 okumaliriza. Wadde nga entono, zimala okutendeka abalimi b’Enima ya Katonda okussa m’unkola mu nimiro zabwe. Nga bwe kisobozesa abalimi okulaba obulungi bwokundiganamu nomukisa gwokubikola bo benyini. Ngeri nungi eyokwenyigiramu ate nga kinyuma eri abo abenyigiramu. Okweyongera okumanya ebikwatagana n’Enimiro Enfukirire Obulungi funa akatambi (DVD) ak’Enima ya Katonda oba ofune ekitabo kyebayita Endagiriro yaBayigiriza. Ebyama ebyomugaso okutekamunkola mu bitindu byaffe • • • • Okwewayo okumala emyaka etaano oba mukaaga ng’odinganamu mukutendekebwa. Funa omuntu omwesiga mukitundu kyo anakuyambanga okubissa munkola. Kilabo kyabuwa – tososola. Kuuma enimiro eyokulabirako (Enimiro Enfukirire Obulungi) mubugazi obwogedwako (mita 6 ku mita 6). 43 • • • • • Bwoba obera kumpi ne kitundu kyogenda kusomesamu amasomo gateke mubumpimpi basobole okutegeera obulungi nga bagendera muntegeka ya kimu ku kimu. Kakasa ng’osomesa mu kyeya. Tegeka abalimi mu bubiinja obutonotono. Togulirira bantu kukozesa nima enno. Tobawa nsigo n’ebigimusa bya bwerere. Saba Okumaliriza Ng’Okulima mungeri ya Kantonda kweyongera mu mawanga, okubazamu amanyi kwaffe kwe kuno- temwelabiranga nti ABAAVU betusako esiira. Balina ekifo ky’enjowulo mu mutima gwa Katonda, naffe tulina okulaba nga tubawereza ne mitima jaffe gyona. Katutwale obubaka buno mu buwombefu nga tugondera ekigambo kya Katonda, ng’emizi tugisimbye mu kisa kya Kristo era tubuweyo mu kwagala okungi eri balunkupe basobole okusumululwa. 44 Ebikozesebwa • Ku Yintaneti: www.farming-gods-way.org • Obutambi Obutendeka (mu Luzungu ne Luswahili) Obutambi buno ebulaga ebisumuluzo bya Baibuli wamu ne nokukola kw’obukugu n’endabirira. Mulimu okunyonyola kwebifanaani era obutambi buno bukwatibw mubifo ebilungi ennyo. Obutambi buno bumala essawa omusanvu ate bumenyidwamu mubutundu bw’enjowulo, bujjakutwala omulabi mukuvumbula obutonde bwa Katonda obwewunyisa, okubikula ekilabo ky’akulima mungeri ya Katonda. • Akatabo Akalungamya Abatendesi (mu Luzungu) Kano akatabo kamugaso nyo eri abo abalagala okugaziya amagezi gabwe mu Kulima mungeri ya katonda. Katekwa okuba mu’ngalo za buli omu atendeka mu kulima mungeri ya Katonda. • Enima ya Katonda (Okulima mu ngeri ya Katonda) Endagiriro ye Nimiro Akatabo Kano y’Endagiriro ye Nimiro ekozesebwa mukutendeka mu bitundu. Kasobola okuwanulibwa ku yintanet okuva mukitundu eky’Ebikozisibwa (Resources) ku www.farming-gods-way.org . Envunula ya katabo kano ejjakubawo mukuwanula okuva mukifo ky’Ebikozesebwa mukutu gwa Enima ya Katonda nga bamaliriza. • Ebibuuzo ebyo lwatu: info@farming-gods-way.org 45
Similar documents
How You Can Help Your Child With Cerebral Palsy
Buno bukosa entuula, entambula, enyimirira, okwogera oba empuliziganya, endya, buleta okwesika, bukosa okuyiga wamu ne neyisa.
More informationCBS @20 CBS @20 CBS @20 CBS @20
ng’okozesa amagezi ag’ekikugu ng’okulimira ku mazzi, mu busenge ate n’ofuna kinene. Dr. Mukiibi – MUK
More information